Zechariah 14:20-21

20 aKu lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 bWeewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.

Copyright information for LugEEEE